Minisitule y’ebyobulamu mu Ggwanga ereese ebbago mweyagalira abantu abaleka ettaka lyabwe okumeramu ebisambu nga tebafuddeeyo kubisaawa bawe engasi yakakadde kamu nga bino byebimu ku biteeso ebiri mu bbago lya Public Health Amendment Bill 2022.
Gavumenti eyagala wakolebwewo enoongosereza mu kawaayiro 95 aka Principal act nga bateekawo engasi empya eri abantu abalemererwa okusaawa amaka gaabwe wamu n’amayumba agazimbibwa negafuuka ebifulukwa nga mumezeemu omuddo.
Akawaayiro 95 akaliwo kati kagamba nti; teri muntu yenna mu Municipality oba Town anakiriza ekifo oba ettaka lye oba wabeera oba lyonna lyarinako obuvunaanyizibwa kuzika n’ekisiko oba omuddo omuwanvu ennyo okusinziira ku ndowooza ya Medical Officer nga kiyinza okutereka ensiri.
Kati wano Minisitule wereetedde enongosereza ng’eyagala nannyini oba oyo awangalira ku ttaka lino nga singa kamutanda nalimenya avunaanibwa nasasula currency points 50 nga kekadde nga kamu oba ekiboonerezo ekirala kya Currency point 1 buli lunaku oluyitawo nga amaze okusingisibwa omusango wabula nga tasaaye nsiko eno.
Wabula ekyenaku etteeka lino terinnyonyola buwanvu bwamuddo ogutwalibwa okuba nga gukuze.
Wabula Minisita w’ebyobulamu @Jane Ruth Aceng bweyagenze mu Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobulamu okubanjulira ebbago lino Omubaka Charles Ayume (Koboko Municipality) yategeezezza nti engasi esasulwa ebitongole ntono nnyo singa ziba zimenye etteeka lya Public Health Act.
Etteeka ligamba singa ekitongole kimenya akawayiro 133C kiba kisasula engasi ya currency points ezitasukka 500 nga bwebukadde nga 5 nga buno tebwenkanankana butonde bwansi bwaba ayonoonye.
Ssente w’Akakiiko era yategeezezza nti ebbago lino erya Public Health Amendment Bill lyakuyamba ne ku kkampuni enziisi okulaba nti okuziika kukolebwa mu mbeera etasobozesa kusaasanya ndwadde.
Kiko kyolowooza ku bbago lino?