Ministule evunaanyizibwa ku Nsonga z’ebweru w’eggwanga, evuddeyo netegeeza nga bwekoze enteekateeka okukkomyawo omulambo gwa Munnayuganda, Florence Babirye eyafiiridde mu musisi eyayise mu Ggwanga lya Turkey naleka abantu abasoba mu mitwalo 2 bafudde.
Omulambo gwa Babirye enzaalwa ye Lwengo bagusanze mu bifunfugu bya kalina mwabadde asula mu kitundu ky’e Hatay. Minisitule y’emu eraze nga munnayuganda omulala ali mu ddwaliro nga ajjanjabwa olw’ebisago ebyamanyi byeyafunye.