Emmerson Mnangagwa olunaku olwaleero alayiziddwa nga President wa Zimbabwe oluvannyuma lw’okuwangula akalulu akaliimu kalumanywera nga era ke kalulu akasooka bukyanga Robert Mugabe okuva ava ku ntebe.
Obuwanguzi bwa Mnangagwa bwawakanyizibwa nnyo ab’oludda oluvuganya, wabula avuddeyo n’asuubiza okukuuma wamu n’okutumbula eddembe ly’obuntu mu Zimbabwe nga bino byonna bibadde mu kibuga ekikulu Harare. Ono nga yali musajja wa Mugabe owokulusegere mu kibiina ekikulembera Zimbabwe ekya ZANU – PF yawangula akalulu n’ebitundu 50.8 nga bonna bwebukirizibwa okulangirirwako omuntu nga awangudde naddirirwa Nelson Chamisa n’ebitundu 44.3.
Abagoberera eby’okulonda okuva mu nsi z’ebweru bagamba nti akalulu kano kaali k’amazima nabwenkanya nga temuli ffujjo ekitabangawo mu Zimbabwe.
Yo ekkooti enkulu mu Zimbabwe ku lw’okutaano lwa week eno yagoba okwemulugumya kwa Chamisa nga agamba nti akalulu kalimu okubba kungi.