Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM e Kayunga basobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lwa Ssaabakunzi w’ekibiina kino owa Disitulikiti y’e Kayunga okulangirira nga bwalekulidde ng’ebula ebbanga ttono nnyo akalulu ka Ssentebe wa LC5 okuddibwamu.
Bwebabadde mu lukiiko lwabakulembeze ba NRM e Kayunga olwatudde ku kitebe e Ntenjeru, Kizza Mutwalibu yewuunyisizza banne bweyavuddeyo nabategeeza nga bwalekulidde ekifo kye olwabakulembeze obutabeera berufu.
Ekyanyiizizza Kizza kwekulemesebwa omu ku bakulembeze ba NRM okwogera lwaki ekibiina kyandiddamu okuwangulwa ku kifo kya Ssentebe, nti era ensimbi z’ekibiina bwezijja e Kayunga bakulembeze banne bamusuula ettale.
Ono yawuliddwako nga ategeeza nga bwataganyuddwa mukuwagira NRM oba Pulezidenti Museveni bwatyo nategeeza nti kayegatte ku kibiina ekirala ekinamulabamu omulwamwa. RDC wa Disitulikiti y’e Kayunga Ssempala Kigozi yagezezzaako okumuwooyawooya nga buteerere.
Kizza agamba nti yafuna akabenje nganoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu namenyeka okugulu nga kati banatera nakutemako naye tafunanga buyambi kuva eri Pulezidenti yadde ekibiina kye nga kati atambulira ku miggo.
Ono yagenze ewuwe nakimayo ebyambalo bya NRM byonna byalina nabitwala nabisuula awabadde olukiiko nalinnya booda booda nagenda.
Kizza yegasse ku Joseph Ouma, eyali NRM Secretary General wa Disitulikiti y’e Kayunga eyegatta ku National Unity Platform – NUP kuntandikwa y’omwaka guno. Ouma yayabulira ekibiina nga agamba nti ekibiina kyali kyenyigira mu kugulirira abalonzi n’okubba obululu.