MPAGIRA OS SUUNA OKUSIBA BANNAMAWULIRE YADDE SIMWAGALA – BEBE COOL

#Wolokoso:
Moses Ssali aka Bebe Cool avuddeyo ku kya Os Suna okutwala Bannamawulire Keyz, Brian Wako ne Makko ne blogger Isma Olaxess; “Ani mutuufu, era ngenda kuyimirira mbagambe nti yadde Ssuuna simwagala ng’omuntu kubanga nze alina ebintu byakola nenewuunya, naye Ssuuna MUTUUFU, ku lwobulungi bw’ekisaawe ky’okuyimba katugoberere amateeka, amateeka tugaleke gakole ku buli Munnayuganda. Olwokuba Bannamawulire musobola okwatagana nemukuba omuntu tekitegeeza nti muli batuufu.
Mukimanyi bulungi nti Ssuuna yayimuka nakaaba amaziga gonna, ssaalabako Munnamawulire oba Uganda Journalists Association- UJA nga ewandiikira Keyz ngemugamba akyuuse mu nkola ye, tewali muntu yavaayo kuwagira Ssuuna. Ssuuna yakaaba amaziga okumala wiiki, muntu mukulu alina abaana, naye laba omwana wo akulaba nga otiirika amaziga, banaaye abamawulire batutuusaayo.
Naye Bebe Cool banvumidde ebbanga, osanga nze nina amaanyi mu mutima naye Ssuuna tagalina. Kati bwoba otegedde mutuule ku meeza musonyiwagane naye nga mutegedde ensobi weeri si kumuteekako kifuba nti tobatwala mu kkomera.
Keyz mukwano ggwange, naye Keyz asiiba avuma Bebe Cool era mulabula ne ku TV Jajja Iculi1 oyo nze mubuulirira naye siyinza kubakiriza kugenda mu maaso nakukola bikyamu.
Amannya gano tutwala obudde bungi okugazimba, tuteekamu ssente nnyingi nnyo, abamu abayimbi mugamba nti baaggwa noggwa naye nga erinnya etono eryo lyasigazzaawo limuwa fiizi nakyakulya kati ggwe ozze oziikira ddala akanya akatono aka Ssuuna akasigaddewo.
Musajja yeyiiya Munnayuganda, Bananyuganda tulina okulekerawo okwagala okukuba Bannayuganda banaffe ne Yuganda, tufeeyo okutumbula Bannayuganda ne Yuganda nga Abanayigeriya bwebakikola, tolisango mawulira ga Nigeria nga gakuba abayimbi ba Nigeria.
Ku nsonga eyo nze ngamba tukirize ensobi weyabadde, olwo tugambe nti tusonyiwagane ffenna tuyize. Njagala nnyo Ssuuna waali ategeere nti kati ofunye kyobadde oyagala. Naffe mu kisaawe kyokuyimba tuli basanyufu nti eryo etoffaali lyongeddwako, osanga Bannamawulire olwaleero nammwe munavaayo nemugamba nti naffe tuyize.
Kaakati osigazizza muyimbi gwokutte kifaananyi ngalwana, nga yeyisizza bubi, ngayogera ebigambo ebikyamu, akola ebintu ebyekisiru mukwate ku katambi omutwale ku TV okole puloguraamu yo.
Omuntu nebakuwa emitwali etaano oba kumi ogende oyonoone erinnya lyomuntu eryobuwanana bwensimbi?!”
Leave a Reply