MPOX azinzeeko Disitulikiti y’e Luweero

Abakulira eby’obulamu mu Disitulikiti y’e Luweero balabudde abantu bonna okwetanira Amalwaliro singa bafuna embeera gyebatategeera era basabiddwa okuddamu okwewa amabanga, okwewala okukwata abantu mu ngalo wamu n’okunyiikira okunaaba mu ngalo okulaba nga basobola okwewala okusaasaanya ekirwadde kya MPOX ekibaluseewo mu Disitulikiti eno.
Bano okuvaayo kidiridde abakulira ebyobulamu mu Disitulikiti eno okulangirira nga bwezindiddwa ekirwadde kya MPOX nga webukeeredde olwaleero nga abantu 6 bebakakasiddwa ate bbo 15 be bakyekebejjebwa era bonna baatereddwa dda mu kifo webakuumirwa okwongera okwetegereza embeera yaabwe.
Bya Lwanga Musa
Leave a Reply