Omubaka akiikirira Budadiri West Nathan Nandala – Mafabi avuddeyo nasaba Uganda Police okukwata Ababaka bonna abatuula ku kakiiko ka Palamenti aka Legal & Parliamentary Affairs Committee, nga agamba nti bano bekobaana mu kuyisa akasiimo akakawumbi 1 mu obukadde 700 ezaweebwa ba Kkamisona 4 ngogyeeko ekyokujjuza abeŋŋanda zaabwe mu bifo bya Palamenti ebisava.
Okwogera bino abadde ayogerako eri Bannamawulire oluvannyuma lwokussa omukono kiwandiiko ekiggya obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti 4. Mafabi agamba nti abadde mu Palamenti okumala emyaka 23 egiyise, tewali kkamisona yenna yali aweereddwa kasiimo kakikula kino. Ono agamba nti n’Ababaka abatuula ku kakiiko k’Amateeka balina okukunyizibwa nga banaabwe abatuula ku Kakiiko k’embalirira kyebaliko kati olwokwenyigira mu buli bwenguzi mu Palamenti.
Mafabi agamba mu kiseera weyabeerera LOP, yayaleetera offiisi eno okumanyika mu bantu nga kati buli omu gyalwanira okufuna nti wabula talina kasiimo kamuweebwa. Ono yebuuza Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba ne banne kyebakola ekyenjawulo ekibagwanyiza akasiimo. Ono yebuuzizza kyebamusinza mu kutambuza emirimu batuuke n’okuweebwa ensimbi nga tebalina kyebaali bakoze kyanjawulo.