Mufube okukuuma obutonde bw’ensi

Mu kaweefube w’okukuuma obutonde bwensi wamu n’okuzzaawo ebibira ebyatemwa ekivuddeko embeera y’obudde okwonooneka, ne Leero obwakabaka nga buli wamu n’ekitongole kya Habitat For Humanity, busimbye emiti mu Gombolola ya Mutuba VII Myanzi ne mumyuka Busimbi Naama.

Mu kusooka, Minisita wa Kabaka ow’ettaka, obulimi n’obutonde bwensi, Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, nga aliwamu n’omwami w’essaza Ssingo, Hajji Ssebuufu Magala, wamu n’abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bakulembeddemu abantu ba Kabaka mu kitundu kye Kigalama nebakola Bulungibwansi okwetoloola town ye Kigalama era nga yeetabiddwamu n’abaana b’amasomero agawerako.

Oweek Mariam asinzidde wano naalaga abaana engeri gyebasimbamu emiti wamu n’obukulu bw’okugikuuma nga tegitemeddwa okusobola okukuuma obutonde bwensi.

Minisita wamu n’abaana b’amasomero, basimbye ekibira ky’emiti naddala emiti ginaasangwa.

Mu kwogerakwe, Owek Mariam agambye nti Bulungibwansi atandikira mu mbeera zaffe eza bulijjo omuli, okweyonja, okubeera n’emmere emala, okusimba emiti, n’obuyonjo.

Agasseeko nti ebibira bivaamu emigaso mingi omuli; eddagala, enkuba, wamu n’embeera y’obudde ennungi.

Omwami w’essaza Ssingo, Hajj Ssebuufu Magala asabye bannassingo okubeera eky’okulabirako mu kusimba emiti nga omu ku kaweefube w’okugoba ekyeya mu ggwanga.

Emiti egisoba mu 2000 gyegyasimbiddwa.

Leave a Reply