Muwonge Vianne, Councilor LC III Mutungo Zone II ngono Mukulembeze mu Kibiina kya National Unity Platform mu Disitulikiti y’e Nakawa avunaanyizibwa ku byamawulire avuddeyo nawandiikira Pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ngayemulugunya ku ky’omumyuuka w’omwogezi wekibiina Alex Waiswa Mufumbiro okuvaayo nalaga nga bweyegwanyiza ekifo ky’Omubaka wa Nakawa East.
Vianne agamba nti kino kireeseewo ebibuuzo ku kibiina okuba nga kikyali bigendererwa byako, nga agamba nti ekya Mufumbiro okusalawo okulekerera ekitundu gyava eky’ebuvanjuba nasalawo okwesimbawo mu Masekkati so nga babadde bamusuubira okutumbula ekibiina mu bitundu gyava kiba kyabuswavu. Ono ayongerako nti ekya Mufumbiro okuvaayo nategeeza nga bweyaweebwa edda kkaadi kiba kiwubisa abantu wamu n’okunafuya ekibiina mu ngeri gyekikolamu emirimu.