Omuyimbi Spice Diana yavuddeyo nalumba abawagizi be abamunenya ku nnyambala ye; “Mulekere awo okugamba okwambala nga abayimbi bammwe aba Kadongo Kamu. Nze kyendi kyendi ekinfuula ow’enjawulo ku balala. Mulowooza ddi lwendibeera kyendi nga mwagala mbeere omuntu omulala. Emibiri gyammwe tegisobola kufaanana bulungi mu ngoye nga zino zenyambala, guma yonsa baanabo.
Abamu ku ffe emibiri gyaffe teginayiika n’amabeere tegannaggwa, era tulina byetwagala eby’enjawulo n’okusalawo ku biki byetwagala okwambala ebituwa emirembe era ebitufuula abasanyufu.
Bwoba owulira emirembe mu maganduula yambala ebyo nze mpulira emirembe mu bukete. Nabwekityo tubeere bakakamu buli omu asigale mu ttiimu ye. Mujjukire kuno si kwanjula, si mukolo gwa kika, sikuziika mulinde egyo emikolo. N’ekika kya muziki gwenkola nakyo kikulu ku nyambala. Kati oyagala nnyimbe bagikoona mu ggawuni y’ebaga?! Ye mumanyi lwaki engoye ezimu mpanvu ate endala nnyimpi? Abamu mulina obuzibu n’enkula yammwe nabwekityo buli omu abeere kyali.
Bwoba tosobola kumpagira nga bwendi, kitegeeza toli muwagizi wange kuba nzikiriza nti abawagizi bange ennyambala yange tebagirinaako buzibu era ebasanyusa y’ensonga lwaki bampagira n’okunzikiririzaamu.
Bwoba ennyambala yange ekuyisa bubi tongoberera. Tusigaze omukwano.”