Pulezidenti wa Democratic Party Uganda Norbert Mao eyaweereddwa ekifo ky’obwa Minisita mu Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM avuddeyo: “Okulondebwa kwange ntandikwa y’enkola empya. Guno bweguba muyaga, kati mulindirire musisi agenda kuyita. Yuganda yaffe ffenna. Sigenze kulwanyisa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu Lukiiko lwe olwa Baminisita oba okumuwakanya, naye ngenze kukolera Bannayuganda bonna. Kati wano wetutuuse tuli mu misinde gyakati, okumulako emisinde oli akati akaweereza munne. Kino kitegeeza oli bwaba anakakukwasa olina kusooka kudduka naye. Mu misinde gyakati, akati okakwasa adduka so ssi atambula.
Waliwo abantu bangi abaagala Yuganda nga bali mu Democratic Party, National Unity Platform, Forum for Democratic Change – FDC ne NRM nawalala wangi. Twenoonye tukwatire wamu ng’ekitole okusobola okuwangula bano abalwana okuva mu nsiko.”
1 Comment
[…] Source link […]