Mujjenga mu masinzizo nga muli balamu – Ffaaza Kateregga mu kusabira Radio

Abayimbi,  Bannakatemba n'abavubuka bonna basabiddwa okweyuna amasinzizo nga eno basobola okuzimbirayo obulamu bwabwe ate n'okufunirayo okuwonyezebwa okw'endowooza n'emitima gyabwe.  

Ffaaza Deogratious Kiibi Kateregga asinzidde mu Lutikko e Lubaga mu kusabira Omugenzi Mose Radio n'gamba nti : 

" Okugenda mu ssinzizo kikukakatako,  abavubuka abali wano twetaaga Mukama,  Mujjenga mu masinzizo nga muli balamu, tetubalinze nga mufudde mwokka, mwesige Mukama ennaku z'okusinza zimanyikiddwa".

"Bw'obeera Ssereebu mu maaso g'abantu, twagala obeere Ssereebu mu maaso ga Katonda,  obwa Ssereebu tebukoma wano wokka naye ne mu maaso ga Katonda,  nga bwebakukubira emizira nga olinnye ku ssiteegi,  ne ba Malayika bwebaba bakukubira emizira.Obulamu obutaliimu Katonda eba bbomu ".

Ffaaza Kateregga ayongerako nti "Mukolerere emirambo gyammwe. Obulamu bwo kikulu, oteekwa okwerabirira , twefeeko… Nti oli afudde kadomola ka Walagi nebagamba nti Mukama bw'atyo bw'asazeewo !!!. Omubiri gwo kintu kikulu by'oteekamu kubanga gutereka omwoyo ". Ffaaza Deogratious Kiibi Kateregga bw'ayogedde n'akubirwa emizira nasinsi w'omuntu  mu Lutikko e Lubaga. 

Leave a Reply