Mukazi we ow’okubiri amukekyuddeko obusajja – Kayunga

Waliwo musajja mukulu mu Disitulikiti y’e Kayunga asigadde mu bulumi obutagambika oluvannyuma lw’omu ku bakazi be okumukekyulako obusajja. 

Omusasi waffe, Kato Vincent e Kayunga atutegeezezza nti omusajja ono ategeerekeseeko erya Kigozi mutuuze mu tawuni kkanso y’e Kayunga era nga mukazi we okumuggyako obusajja amulanga kumussa nnyonta ya mukwano nga kw’atadde n’okumugobaganya ave mu maka  ge.

Leave a Reply