Mukendeeze ku bayizi bemuwa amasomo g’obusawo – Minisita Kataaha

Mukyala w’Omukulembeze w’Eggwanga era Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni avuddeyo nalagira amatendekero naddala agalina amasomo gebyobusawo okusala ku muwendo gw’abayizi gwebayingiza ku masomo gano okusobola okukendeeza ku mujjuzo oguli mu malwaliro gyebagenda okutendekebwa.
Minisita yategeezezza nti Gavumenti terina busobozi bwongera kugaziya ku malwaliro agaliwo kati oba okuzimba amalala abasawo bano abatendekebwa mwebanakolera. Ono yagambye nti amagezi amangu ennyo agalina okusalibwa okumalawo ekizibu kyomujjuzo gwabasawo mu malwaliro gano kwekusala ku muwendo gwabayizi abatwala amasomo gano mu bwangu ddala.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Omukulu akoze atya ate?!

Omukulu akoze atya ate?! ...

12 3 instagram icon
Lord Mayor Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti kati omuntu afunye wasiza oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugoba abakulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority - KCCA Lukwago balumiriza nti bebaviirako ekikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Wabula Lukwago akalambidde nti Pulezidenti Museveni alina okuvaayo neyetondera abantu b'e Kiteezi.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe

Lord Mayor Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti kati omuntu afunye wasiza oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugoba abakulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority - KCCA Lukwago balumiriza nti bebaviirako ekikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Wabula Lukwago akalambidde nti Pulezidenti Museveni alina okuvaayo neyetondera abantu b`e Kiteezi.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe
...

30 2 instagram icon