Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nti olunaku olwaleero agenze mu Kkooti y’Omulamuzi e Entebe Bannakibiina kya NUP Musuuza Juma aka Madubara, Ssekajiri Isaya, Ssengonzi David aka Lucky Choice ne Tayebwa Julius gyebaleeteddwa okuwulira emisango egibavunaanibwa. Ono ategeezezza nti yewuunyizza enkola eya Kkooti y’Amaggye nti ne mu y’abantu babulijjo bwekiri ono agamba nti abasibe babagambye bakirize emisango oba bavundire mu kkomera. Ayongeddeko nti Kkooti ekivudde kizibu nnyo okulaba nti bano bayimbulwa ku kakalu ka Kkooti.
Mukirize emisango oba muvundire mu kkomera
