Mukolere ku ttaka lyammwe okwewala okulibba- Minisita Nabakooba

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba nokuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba avuddeyo navumirira enkayana zettaka ezisusse mu benganda mu Greater Mubende nga kiva ku balumbagana bebaba bagabira edda ettaka nebatandika okubatiisatiisa.
Ono yategeezezza nti tekikomye mu bantu naye kituuse ne mu Kkanisa wabula nategeeza nti Gavumenti ekola ekisoboka okukikomya.
Minisita yasabye abantu okukozesa ettaka lyabwe kuba buli bweribeerawo nga teririiko kintu kisikiriza abalinyaga.
Minisita yawadde ekyokulabirako kya St Paul Kibubula sub-parish esangibwa mu Busunju Parish wansi wa Kiyinda-Mityana, ettaka lyayo eryatwalibwa oluvannyuma lweyagiriwa okufa Abafamire nebaryeddiza. Eno yaggalwa omwaka oguwedde nga bwebagonjoola ensonga eno.
Bino yabyogeredde ku mukolo Kiyinda Mityana Diocese kweyajagulizza okuweza emyaka 42.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Lord Mayor Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti kati omuntu afunye wasiza oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugoba abakulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority - KCCA Lukwago balumiriza nti bebaviirako ekikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Wabula Lukwago akalambidde nti Pulezidenti Museveni alina okuvaayo neyetondera abantu b'e Kiteezi.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe

Lord Mayor Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti kati omuntu afunye wasiza oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugoba abakulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority - KCCA Lukwago balumiriza nti bebaviirako ekikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Wabula Lukwago akalambidde nti Pulezidenti Museveni alina okuvaayo neyetondera abantu b`e Kiteezi.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe
...

28 2 instagram icon
Uganda Police Force mu Kiteezi Parish esobeddwa olwemisango egyekuusa ku kisaddaaka baana egyeyongedde mu zzooni okuli; Kizingiza ne Kabaganda in mu Kasangati Town Council mu Disitulikiti y'e Wakiso.
Abaana 4 abali wakati wemyaka 6-10 bebakattibwa wakati wa January ne September.
Abaana bano basooka kuwambibwa, nebabasobyako oluvannyuma nebabatuga nga bakozesa engoye zaabwe olwo emirambo nebagisuula mu nsiko erinaanyeewo.
Poliisi emyezi 9 ekyalemereddwa okukwata abampembe bani.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

Uganda Police Force mu Kiteezi Parish esobeddwa olwemisango egyekuusa ku kisaddaaka baana egyeyongedde mu zzooni okuli; Kizingiza ne Kabaganda in mu Kasangati Town Council mu Disitulikiti y`e Wakiso.
Abaana 4 abali wakati wemyaka 6-10 bebakattibwa wakati wa January ne September.
Abaana bano basooka kuwambibwa, nebabasobyako oluvannyuma nebabatuga nga bakozesa engoye zaabwe olwo emirambo nebagisuula mu nsiko erinaanyeewo.
Poliisi emyezi 9 ekyalemereddwa okukwata abampembe bani.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
...

20 0 instagram icon