Mukomye okusaanyawo obutonde bw’ensi – Kattikiro

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu bonna mu Buganda okusitukiramu okulwanyisa ekikolwa ekyokusanyaawo obutonde bwensi ekikutte ejjembe mu ggwanga nga kino kiviuriddeko embeera y’obudde okutabanguka .
Katikkiro okwogera bino abadde mu bumuli bye bulange e Mengo amagombolola agenjawulo okuva mu masaza okubadde Buddu ,Busujju bwegakiise embuga mu nkola ya Luwalo lwaffe nga gano gawaddeyo ensimbi ezisobye mu bukadde 15.
Kumukolo guno era katikkiro kwatongolezza obusiki bwa Amatikkira ga Kabaka ag’emyaka 26 nga gano gakukuzibwa ngennaku zomwezi 31 omwezi guno mu ssaza lye elye Busiiro
 
Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Owek Joseph Kawuki yeebazizza Katikkiro olw’okulaba nga oluwalo lukoze kinene nnyo okusitula embalirira ya Buganda. Wano wasinzidde n’akubiriza abantu ba Kabaka obutakoowa nga banyaga, bongere amaanyi mu kukiika embuga obwakabaka bugende mu maaso. Amagombolola gakoze bwegati; Buddu
Musaale Butenga – 3,025,000
Mut XXI Lwabenge-1, 300,000
 
Mut XVIII Kibinge 5m
Mut XXII Kitanda 1,350,000
 
Amasomero
Kibuli SS – 500,000
Glorious p/s lugala masanafu. 630,000
 
Bannabyabufuzi okuva e Busujju 2,600,000
Leave a Reply