REV. FR. John Kibuuka Bossa nga yakulira Abasodokisi e Luweero yalabudde
Bananyuganda naddala Abakulisitaayo okukomya omuze gw’okutwalira
amateeka mu ngalo kubanga si kirungi okwetaba mu kuggyawo obulamu
bw’abantu.
Bino yabyogeredde mu mmisa gyeyayimbye mu kiggo
ky’abasodokisi ekya Anoonya Orthodox Centre e Ddegeya mu Ggombolola y’e
Kalagala e Luweero n’agamba nti n’amateeka g’eggwanga tegakikkiriza
kino.
Oluvanyuma lwa mmisa wabaddewo embaga y’okutukuza amazzi
ng’akabonero k’okujjukirirako okubatizibwa kwa Yesu bwatyo n’akubiriza
Abakristu okwewala okuguzibwa amazzi ng’abantu bagamba nti gamukisa
kyokka nga benoonyeza nsimbi.
Abakkiriza betwalidde ku mazzi gano
agatukuziddwa nga basabiddwa okugakozesa obulungi okusobola okubayamba
mu bulamu bw’omubiri n’omwoyo