Mukono yeeriisizza nkuuli mu bya S.6

Mu bigezo bya S. 6  ebifulumiziddwa enkya ya leero ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB, Disitulikiti y’e Mukono yeerisizza nkuuli era yeekulembedde zi Disitulikiti zonna nga eyisizza abaana abafunye Principle Passes ssatu ebitundu 52.9 ku buli kikumi, awo neddirirwa Wakiso  efunye 47.7 % , Kampala – 45.2 %, Mbarala  –  32.9% n’endala nezigoberera. 

Ebivudde mu bigezo biraga nti abawala beeriisizza nkuuli ku balenzi era nga omuze ogw’okubba ebigezo gukeendeeredde ddala.

Wabula ebigezo by’abayizi 48 bikwatiddwa ekitongole nga kigambibwa nti baaliba nga beenyigira mu kubba ebigezo era nga agamu ku masomero agakwatiddwa ebibuuzo mulimu; Science Foundation School Mukono, nga ababuuzo by’abayizi 27 bikwatiddwa. Amalala mulimu Alliance SS  e Ibanda, Ezra Memorial SS nga lino lisangibwa mu Disitulikiti y’e Kibuku, Rubona SS e Kabarole ne Iganga Parents erisangibwa mu Disitukiti y’e Iganga.

 

Leave a Reply