Mukozese social media bulungi – Hon. Janet Museveni

Mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataaha Museveni; “Eri mmwe Abavubuka wamu n’abaana ba Yuganda abasalawo okumpita Maama nga tewali abakase. Mpulira mweyita ba ggaayi, kale leero njagala okubategeeza nti mbagala nnyo ba ggaayi. Okumala akabanga mbadde nebuuza engeri gyenyinza okubatuukako njogereko nabazadde abato abemyaka egisoma.
Wano ggyo lyabalamu mu mazaalibwa gange ag’emyaka 73 newuunya okwagala nemikisa gyemanjagaliza mu bubabaka bwemwaweereza nga muŋŋamba nti ‘Amazaalibwa amalungi Maama.”
Nakizudde nti ‘social media’ efuuse ensonga etambuza amawulire amafu wamu n’obukyaayi ate esobola okukyuuka nga tuyita mu kusaasirwa kwa Katonda nekozesebwa okusomesa ebirungi wamu n’okuluŋŋamya abaana baffe okutuukiriza ebiruubirirwa bya Mukama Katonda.
Olwaleero njagala ntandikire kukubasomesa okwagala eggwanga lyammwe – Omwoyo Ggweggwanga. Kino kitegeeza okwagala eggwanga lyo era nokubeera omwetegefu okulirwanirira. Nabwekityo ba ggaayi muli bato era kati musobola okugamba nti eggwanga lyange ndyagala naye kiki kyenyinza okukola okulirwanirira? Ekyokuddamu kikino, kituufu oli muto wabula okulwanirira eggwanga lyo tekitegeeza kulwana lutalo.
Okulwanirira eggwanga lyo kitegeeza okukola ebintu ebyo ebiriyitimusa okuliweesa ekitiibwa, okukwasa ensi endala ennugu nebirala. Kambawe ekyokulabirako; bwobeera omuyizi fuba nnyo okukola obulungi yadde mu kaseera kano aka COVID-19, bwoba olina offiisi gyokolamu fuba okulaba nga nnyonjo, Minisitule gyokolera emanyiddwa nti yesinga mukuweereza era nga ekozesebwa nga ekyokulabirako abalala bakuyigireko, bwoba Maama asigala awaka fuba okulaba nti abaana basoma bulungi ku ssomero, awaka obayigiriza emirimu era amakaago kyakulabirako eri abantu abalala nga oluggya lwo luyonjo, mulimu ebimuli nga buli omu yewuunya. Bwoba muwala ku ssomero, fuba okulaba nti oli muyizi mulungi, toyonoona budde, oli muyonjo, enviiri zo nnyimpi, zisoboka era ziri natural kuba wenyumiriza mukubeera Omufirika. Tewenyigira mu byabukaba oleme okwonoona misomo gyo n’erinnya lya Yuganda yonna bwoba mulenzi naawe beera ekyokulabirako, toyambala mpale njulifu kuba Yuganda tekirirza mu bayeyereza bayinike mbu musono.
Ekisembayo, abantu abo bonna benkozesezza nga ekyokulabirako, singa batuukiriza emirimu gyabwe ku ns inga bakirizza okutya Katonda n’okumuweera kuba amagezi mu kutya Katonda mwegasookera.”
Leave a Reply