Katikkiro Charles Peter Mayiga, asabye Abaganda okukuuma n’okunyweza ennono ey’okwabya ennyimbe kuba nkulu nnyo okukuuma Obuganda n’okunyweza Ebika, ate nga n’eddiini tesuuliddwa muguluka.
Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse Omumyuka we Asooka Prof. Twaha Kaawaase, eyamukiikiridde mu kwabya olumbe lw’Omugenzi Oweek. Margaret Nagawa Siwoza, eyali Nnamasole wa Buganda, olwabadde mu maka g’Omugenzi e Buziga mu Kampala.
Nnamasole Margaret Siwoza yaseerera omwaka ogwaggwa.
Katikkiro yeebazizza nnyo Omutaka Mugema, omukulu w’ekika ky’enkima olw’okutuukiriza obulombolombo n’ennono ebigendera ku kwabya olumbe mu Buganda.
Ye Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka Abakulu ab’Ebika, Omutaka Augustine Kizito Mutumba, asabye abantu okukomya okukoppa n’okwekukuutiriza ku buwangwa obw’amawanga amalala, kyokka ne beerabira empisa ezaabwe. N’awa eky’okulabirako eky’okwabya ennyimbe; omwana omuwala okwanjula, n’emikolo emirala egiggyayo ekitiibwa kya Buganda.
Omutaka Mugema, Nsejjere Mugwanya, yatenderezza ebirungi Nnamasole Margaret Siwoza bye yakola mu kiseera kye eri ekika, abantu ssekinoomu, n’Obuganda okutwalira awamu.
Omugenzi yasikirwa Damalie Nantongo Muganzi, ku bwa Nnamasole ate mu musaayi yasikiddwa Harriet Nammuli, n’aweebwa ne Babirye Nakabugo nga Lubuga we.
Okusaba okw’Ekkanisa kwa kulembeddwamu Omusumba w’e Mugongo mu Bussabaddiinkoni bw’e Nateete, Rev. Samuel Kalibbala, eyasabye abantu okufuba okubala ebibala by’ensi ebiganyula abalala.
Mwannyina w’omugenzi era Kkojja wa Kabaka Omukulu, Ssabaganzi Emmanuel Ssekitoleko, yeebazizza nnyo bonna abaayimirira nabo mukujjanjaba omugenzi, ate ne mukaseera akazibu we yafiira.