Mukyala wange yawambibwa – Francis Onebe

Abasirikale abanoonyereza kukuwambibwa kw’omukyala okuva e Muyenga Immaculate Mary Blessing Onebe, bagamba nti kati bagenda kukebera endagabutonde okukakasa nti oba ddala ebisigalira ebyagibwa mu septci tank bya mukyala ono oluvannyuma lwa Bba Francis Onebe okutegeeza nti ebyo si bya mukyala we.
Onebe ali mu kaduukulu ka Uganda Police Force akyakalambidde nti tamanyi ngeri omulambo gw’omukyala atanategeerekeka gyegwatuuka mu septic tank mu maka ge. Omwogezi w’ekitongole kya Police ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID Charles Twiine agamba nti kati bagenda kukebera ndagabutonde nga beyambisa abaana b’omukyala okuzuula oba omulambo ogwannyululwa mu septic tank gwa nnyabwe.
Twine agamba nti ebikolwa byomwami Francis Onebe bibadde bigezaako nnyo okubawula okuva kukunoonyereza okuva omukyala ono lweyabula.
Francis yaddukira ku Poliisi y’e Kabalagala naggulawo omusango gwomuntu abuze, bweyavawo nagenda ku CMI, SIU ne CID ngagamba nti mukazi we yabuziddwa abantu abatanategeerekeka ababadde batambulira mu motoka ekika kya Drone. Yatwala nakatambi aka kkamera enkettabikolwa nga kalaga Drone nga esibira ku mukyala we Immaculate bweyali ava okugula ebintu.
Ngogyeeko okugenda mu makomera g’amaggye ne Poliisi, Francis yalabikira ku TV ezenjawulo ngakalambira nti mukyala we yawambibwa nti era yateeka n’ebirango mu mpapula z’amawulire, ku TV ne Radio ngalanga mukazi we.
Abakola kukunoonyereza baddamu okubuuza Francis ku bbalaze wiiki ewedde nebakitegeerako nti yali ateekateeka okuva mu ggwanga nebekengera kwekuddamu okumukwata. Bweyabuuziwa lwaki yali ava mu ggwanga wakati mukunoonyereza nabategeeza nti yali agenda mu Bungereza kufuna bujanjabi.
Abasirikale bwebakoze okunoonyereza nebakizuula nti Francis yali akoze bukingi ku bifo byamirundi ebiri mukadde kekamu. Poliisi yakikakasizza nti ono yali alaze nti agenda Nairobi kujanjabwa ate oluvannyuma nakyuusa nalaga Bungereza.
Leave a Reply