Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza Abazadde okulabirira obulungi abaana abalina obulemu obw’enjawulo ku mibiri gyabwe.
Bino abyogeredde Kawoko, Bukomansimbi mu Buddu, bw’abadde yeetabye mu kuziika omugenzi Joy Elizabeth Nannyanzi, muto wa mukyala we Margaret Mayiga.
Omugenzi yazaalibwa nga mwana mulamu, kyokka yafuna obulemu obw’amaanyi oluvannyuma lw’okujjanjabwa obulwadde bwa malaria, ekyamuviirako okwesiba obwongo n’okuziba amaaso.
Katikkiro yeebazizza nnyo bakadde ba Nannyanzi Omw. Eldard Walakira ne mukyalawe, kati omugenzi Robina, olw’okulabirira omwana waabwe ebbanga lyonna n’akula.
Akiggumizza nti obulemu si musango, era n’akubiriza abazadde ab’abaana abaliko obulemu, okubaagala ennyo, n’okubalabirira obulungi, kuba oluusi bavaamu ne bakola eby’omugaso mu nsi muno.
Agambye nti ne wankubadde nga oluusi wabaawo okusoomoozebwa okw’enjawulo, abaaba bano tebateekeddwa kulagajjalirwa.
Taata w’Omugenzi, Muzeeyi Eldard Walakira, yeebazizza nnyo Katonda olw’okubasobozesa okulabirira omwana waabwe ono, eyali mu mbeera enzibu, n’akula, ate n’abo ababayambyeko ebbanga lya Joy lyonna.
Ate ye Mukyala Margaret Mayiga, omu ku baganda b’omugenzi, amwogeddeko nga abadde omusanyufu ennyo, omuyonjo, ate ng’alina ekitone eky’okujjukira buli kibaddewo.
Agambye nti omugenzi abaddeko eby’amagero bingi era ne yeebaza bakadde baabwe ate n’abo bonna ababayambyeko okulabirira Joy ebbanga lyonna ery’obulamu bwe.
Okusabira omugenzi kukulembeddwamu Rev. Julius Ssonko, ow’Obusumba bwe Butenga.