Mulago bagiwadde obuwumbi 17 okujanjaba Bannayuganda URA bagiwadde buwumbi 18 kujanjaba bakozi baayo

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobulamu olunaku olwaleero kawuniikiridde bwekakitegeddeko nti Eddwaliro lya Mulago National Referral Hospital liweereddwa ensimbi obuwumbi 17 mu obukadde 756 okugula eddagala n’ebintu ebirala ebyetaagisa okujanjaba Bannayuganda bonna mu mwaka gw’ebyensimbi 2025/26 wabula kyo ekitongole ekiwooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority kyaweereddwa obuwumbi 18 mu obukadde 200 okugulira abakozi b’ekitongole kino eddagala mu mwaka gwegumu.
Dr. Rosemary Byanyima Executive Director, alabudde Palamenti nti singa tebaweebwa buwumbi lwakiri 101 bakugenda mu maaso okusindika abalwadde okwegulira eddagala wabweru w’eddwaliro.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply