Mulamuzi nnyamba Isiko akyampeereza obubaka – Hon. Rwabwogo

Omubaka Sylvia Rwabwogo asabye kkooti emukkirize aleete emisango emipya ku muvubuka Brain Isiko eyamukwana. Rwabwogo ng’ayita mu looya we, Radislus Rwakafuzi ategeezezza kkooti ya Buganda Road nti Isiko amulemeddeko era akyamukwana.

Rwabwogo mu kiwandiiko ky’aleese ategeezezza omulamuzi Stella Amabirisi nti n’eggulo limu Isiko yamukubidde amukwana ekintu ekyamumazeeko emirembe. Ategeezezza kkooti nti alina n’abapoliisi abapya babiri b’agenda okukozesa ng’abajulizi n’asaba emisango emipya Isiko gimuggulweko.

Kyokka looya wa Isiko,  Ramathan Waisswa okusaba kwa Rwabwogo akusimbidde ekkuuli n’ategeeza kkooti nti kimenya mateeka okuleeta emisango emipya ku Isiko. Agambye nti Kkooti Enkulu bwe yali eragira omusango gwa Isiko guddemu okuwulirwa, yalagira nti balina kukozesa bujulizi bukadde nga kati okuleeta obupya oludda oluwaabi lubeera lugezaako kubikka bituli ebyabalema ku mulundi ogwayita.

Omulamuzi omusango agwongezzaayo okutuusa ku ssaawa 8 awe ensala ye ku nsonga eno.

Leave a Reply