Muleete ebbaluwa ekakasa nti Ssegiriinya yafa – Prosecutor Birivumbuka

Gavumenti olunaku olwaleero mu butongole esudde emisango okuli; gw’obutemu wamu n’obutujju egibadde givunaanibwa eyali Omubaka wa Kawempe North omugenzi Muhammad Ssegiriinya era Kkooti nalagira omuwaabi wa Gavumenti akyuuse mu mpaaba bweba yakugenda mu maaso n’okuvunaana abantu abalala 5 beyali avunaanibwa nabo.
Bino bituuseewo olwaleero mu maaso g’Omulamuzi Alice Komuhangi Kaukha mu ttabi lya Kkooti Enkulu ery’Ensi yonna eriwozesa emisango egya nnaggomola. Omulamuzi asaasidde nnyo Eggwanga olwokufiirwa Omubaka Ssegiriinya ngono yali avunaanibwa ne mubaka munne Allan Ssewanyana n’abantu abalala 4 nga kigambibwa nti bano baalina omukono mukutema abantu ebijambiya mu mwaka 2021 mu bitundu by’e Masaka.
Munnamateeka w’Omugenzi Ssegiriinya, Samuel Muyizzi ategeezezza omulamuzi nti omuntu we yafa nga 8-January-2025 nti era ebiragiro byokukiikirira Ssegiriinya lwebyakoma.
Ono asabye Kkooti emuwabule ku ngeri gyasobola okusigala ngakiikirira Ssewanyana era awo Kkooti wesabidde omuwaabi wa Gavumenti Richard Birivumbuka annyonyole.
Birivumbuka asabye Munnamateeka amuleetere ‘Death Certificate’ ya Ssegiriinya okukakasa nti yafa wabula omulamuzi kino nakiwakanya nategeeza Birivumbuka nti bwebaba nga bebategese n’akalulu kokujjuza ekifo kye abeera atya nga takimanyi nti yafa. Ono era asabye Kkooti bamwongereyo akadde asobole okukyuusa mu mpaaba ngaggyeeko Ssegiriinya bagenda mu maaso n’abalala.
Omulamuzi ategeezezza nti olwokuba nti abalala bakyali mu kkomera, oludda oluwaabi luweebwe wiiki 2 zokka okutuusa nga 1 April.
Oludda oluwaabi lukalambira nti mu mwezi gwa August 2021, Ababaka bano 2 n’abantu abalala bateekateeka okutta abantu abawerako mu bitundu by’e Masaka. Wabula Bannamateeka bawakanyizza ekyokukyuusa mu mpaaba kiba tekikola makulu kuba erinnya lyomugenzi Ssegiriinya lijja kusigala nga lirabikira mu bujulizi.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmwe
#FightHardMrUpdate

Leave a Reply