Muleete Eron Kiiza alina okubeera ku ttiimu ya Bannamateeka ba Besigye – Karua

Bannamateeka ba Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye nga bakulembeddwamu Munnamateeka Munnansi wa Kenya Martha Karua bakalambidde nti baagala Kkooti y’Amaggye ereete munaabwe Eron Kiiza gweyakaliga emyezi 9 okuva mu kkomera e Kitalya akole omulimu ggwe kuba ali ku lukalala lwa Bannamateeka ba Besigye nga buli omu alina kyalina okukola ku musango guno. Karua agamba nti Kiiza alina omulimu ogwenjawulo gwalina okukola ku misango egivunaanibwa Besigye ne Hajji Obeid Kamulegeya nti bwatabaawo baba tebasobola kutambuza bulungi mulimu gwabwe kuba baba tebawera.
Bano basabye Kkooti emuleete basobole okwanguyirizibwa mu mulimu gwabwe.
Bannamateeka era balaze obweralikirivu ku Bammemba ba Kkooti eno abakyuusibwa entakera era wano webasabidde Ssentebe wa Kkooti eno Brig . Gen Freeman Mugabe aveeyo abakakase ku ngeri omusango gyegunatambulamu nga Bammemba bakyuusibwa. Kkooti esuubirwa okwanukula ku nsonga zino.
Bya Christina Nabatanzi
Leave a Reply