Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo neyekkokola abantu abagufudde omuze okumupeeka okubongeza omusaala olwokuba ebintu birinnye ebbeeyi. Pulezidenti Museveni agamba nti abantu abatamatira bamusinduukiriza emmeeme nebamuwaliriza n’okudda mu nsiko alwane buto.
Ono abasabye okwongera okubeera abatetenkanya kuba naye afuna obukadde busatu mu emitwalo nkaaga zokka ng’omusaala naye azitetenkanya nezimubeezaawo ne famire ye.