Pulezidenti wa DP, Nobert Mao ayambalidde bannabyabufuzi abegumbulidde omuze gw’okusiga obukyayi n’okukuma omuliro mu bantu n’agamba nti kikyamu. Bino yabyogeredde ku kisaawe ky’e Makukulu mu ggombolola y’e Kitanda mu disitulikiti y’e Bukomansimbi n’agamba nti ebigendererwa bya DP kwe kulaba nga gavumenti ekyuka awatali kuyiwa musaayi.
Mao yagambye nti mu kiseera kino bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya Gavumenti bandibadde balwana bwezizingirire ng’okulaba ng’eggwanga litereera.
Yagambye nti obukyayi Bannabyabufuzi bwe basiga mu bantu bwandiviirako bangi okwejjusa nga tebakyasobola kutaakiriza mbeera ey’akazigizigi eyinza okuddako .
“Mu kiseera kino bwe tuba twagala enkyukakyuka ffena tulina kubeera kitole okulaba nga tukyusa obukulembeze bw’eggwanga lino so si kulwanagana, na njawukana,” Mao bwe yategeezezza.
Ono abawadde amagezi okulemera ku nsonga y’okuyisa obukulembeze mu mirembe Bannayuganda basobole okweyagalira mu ggwanga lyabwe.
Mao era agugumbudde ebitongole ebikuumaddembe okuli Poliisi n’amagye olwokutulugunya abantu naddala abali ku ludda oluvuganya gavumenti n’agamba nti nabo Bannayuganda era balina eddembe okulwanirira eggwanga lyabwe nga n’olwekyo tewali nsonga ebatulugunyisa.
Mao agambye nti olutabaalo bannakibiina kya DP lwe baatandikawo mu mwaka gwa 1954 lwali lwa kuteekawo Gavumenti ey’amazima n’obwenkanya nga yeesigama ku bantu so ssi magye na poliisi.
Ye omubaka omukyala owa Bukomansimbi, Veronica Nannyondo yasabye Bannabukomansimbi okukwatizako poliisi okulaba nga balwanyisa obumenyi bw’amateeka mu kitundu kino kibasobozese okukuuma emirembe.