Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa yavuddeyo nalabula abantu bonna naddala abali mu Gavumenti okulekerawo okweyingiza mu mirimu gya Palamenti nengeri gyebalina okugikolamu. Ono yabasabye balekerawo okukuba amasimu agatiisatiisa Ababaka abali ku bukiiko obw’enjawulo nti babaleke bakole emirimu gyabwe.
Ono agamba nti oyo yenna abeera alina obuzibu ne Palamenti asobola okuyita mu Nampala w’Ababaka ba Gavumenti oba Ssaabaminisita.