Mulekerawo okutulugunya abantu – ssaabalabirizi

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali alumbye ebitongole ebikuumaddembe ku kutulugunya abantu abamu ne batuuka n’okufiirwa obulamu bwabwe. Ntagali yagambye nti kyesisiwaza okuwulira ng’ebitongole ebikuumaddembe ebirina okukuuma obutebenkevu ate bye bityoboola n’okutulugunya abantu kye yagambye nti kikwasa ennaku.
Yabyogeredde mu lukungaana lwa Bannamawulire olwatudde ku kitebe ky’Obulabirizi mwe yaweeredde obubaka bwa Ssekukkulu n’okwagalazi Abakristaayo omwaka omuggya ogw’essanyu. “Bulijjo omuntu ng’okuuma eddembe olina okuwa abantu ekitiibwa okusinga okubatulugunya abamu ne bafa ate abalala n’otuuka okubeetamya ensi.
We nsabira ebitongole byonna okuli poliisi, amagye n’ebirala okudda eri Mukama kuba mu maaso ga Mukama abantu bonna benkana,” Ssaabalabirizi Ntagali bwe yakkaatirizza. Yennyamidde olw’omuwendo gw’abaana abasobezebwako okulinnya ekitadde obulamu bwabwe mu matigga n’abamu ne bafuna ebirwadde ebikambwe.
Ssaabalabirizi Ntagali yategeezezza nti omwaka gwa 2019 gwateekebwawo ng’omwaka gw’abaana okulaba ng’ekkanisa etunuulira ebizibu abaana bye bafuna omuli okusobezebwako, okuboolebwa, okutulugunyizibwa n’ebirala n’agamba nti bino baagala bikomezebwe.
Yagambye nti, 2017 ne 2018 gibadde myaka gy’amaka naye basanze okusoomoozebwa mu maka omuli abasajja abatafaayo kulabirira maka gaabwe, obwenzi, okukozesa ebiragalalagala ebireetedde amaka okusasika.
Naye bafubye okulaba nga basabira amaka ag’enjawulo era omuwendo gw’ebikolwa bino gukendeera. Ntagali yagambye nti, amaka mangi osanga abazadde nga beenyigira mu bikolwa eby’obusamize ne batuuka n’okuwongayo abantu baabwe kye yagambye nti eky’obulabe eri abaana.
“Nze Ssaabalabirizi n’ekkanisa ya Uganda okutwaliza awamu mbaagaliza Ssekukkulu ey’essanyu n’omwaka omuggya ogw’emirembe naye nga tujaguza tusembeze Katonda mu buli kye tukola bwe tunaaba mu bulamu obulungi obweyagaza,” bwe yakomekkerezza.

Leave a Reply