Abawala n’abakyala abalina omuze gw’okwambala obugoye obumpi mu masinzizo n’ekigendererwa eky’okusikiriza Abasoosodooti, basabiddwa okukomya omuze guno kubanga gujja kubatwala mu kuzikirira.
Bino byayogeddwa Faaza Martin Ssemanda bwe yabadde akulembeddemu ekitambiro ky’emissa eky’okujjukira n’okulamaga ku kijjukizo ky’Omujulizi Yowana Maria Muzeeyi.
“Bannange abawala abambala obugoye obusikiriza ate ne mujja mu masinzizo nga mutwepikira mulekeraawo. Kati bw’osuula omusoosodooti gwe agenda okujja oyimbe emmisa? Tuli batono nnyo mwe muli bangi mutuleke tukole omulimu gwa Katonda.” Faaza Ssemanda bwe yagambye.
Yagambye nti Klezia mu kiseera kino yeetaaga abakazi abagumu ng’omujulizi Yowana Maria Muzeeyi abasobola okuyimirira ku magulu gaabwe ne baziyiza ebikemo ne beemalira ku kusaba n’okuweereza Katonda.
Yeewunyizza abantu abakyakkiririza mu kusamira ensangi zino nga abajulizi battibwa emyaka 100 n’okusoba emabega olw’okulemera ku Katonda omu. Yabalabudde nti Sitaani agaba ebirungi naye olina okubisasulira n’okubizaayo nga tonaba kufa, ng’olumu bibeeramu n’okufiirwa obulamu.
Yakubirizza Abakristu okusomanga e Missa buli lunaku n’okwegayirira bave ku byedda eby’okulowooza nti emissa ebeerawo ku sande kwokka.
Yasabye Abakristu okuyiga okwesabira baleme kulowooza nti buli kiseera waliwo alina okubasabira, kubanga nabo baabatizibwa era basobola okwegayirira Katonda n’awulira.