Muloope ababasaba enguzi bakolebweko – Pulezidenti Museveni

Mu bubaka bwe obwamazuukira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nategeeza nti ekisibye Yuganda okukulaakulana gwemuze gwa Bannabyabufuzi n’abakozi ba Gavumenti abamu abalowoleza ennyo mukunnyunyunta buli kamu nga bayita mu kulya enguzi mu pulojekiti za Gavumenti eziteekebwawo nga PDM, Emyooga n’endala.
Ono yategeezezza nti kiswaza nnyo abakulembeze abalondebwa basazeewo kulya nguzi nakubba ssente za Gavumenti, okulya ssente ku Bannansi wamu n’abagwiira okubawa obuweereza. Wano weyasabidde Bannayuganda okuloopa ababalyako enguzi bonna.
Leave a Reply