Mulwanyise enguzi – Ssaabasajja

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti akooye oluyimba lw’okunoonyereza ku bali b’enguzi bwatyo n’asaba abalina obuvunaanyizibwa bw’okuvunaana abetaba mu bikolwa by’okulya enguzi basse mu nkola ekyo kyebateekeddwa okukola.

“Ffe tulowooza nti ebitongole bya Gavumenti singa birekerwa eddembe okukola emirimu gyabyo nga tebikubiddwa ku nsoloboto, bisobola bulungi okukola ku nawookera ono okulaba nti obulyake bufuuka olufumo oba wakiri okukenderera ddala,” Kabaka bwagambye.
Omutanda agambye nti obuntubulamu, okuba n’ensonyi n’obwegendereza nga tukola ku nsonga z’eggwanga byonna biyamba okubeera mu nsi etwalibwa nti ngunjufu.

Kabaka alaze essanyu olw’Obwakabaka okwongera okufuna emikwano munda mu Uganda n’ebweru nga mwetegefu okukolagana nabo okutumbula enkulaakulana.

“Ku ludda lw’ebibaddewo naddala mu Buganda, tuli basanyufu okuba nti tufunye emikwano okuva ebweru ne munda nga beeteefuteefu okukolagana naffe mu nkulakulana. Ebitongole ebiwerako biziddwamu amaanyi era biri ku mulamwa gw’okusitula embeera z’abantu baffe abaabulijjo.

Amalirizza ng’agamba nti “ Mu byonna ebikoneddwako waggulu byetusinga okukulembeza, kwe kumalawo enguzi, obulyake, okuseketerera n’okunyooma emirimu oluusi egirowoozebwa nti gya wansi. Tubaagaliza Ssekukkulu ey’emirembe n’Omwaka omuggya ogujjudde ebibala.”

Leave a Reply