Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng avuddeyo nakubiriza Bannayuganda okunaaba engalo wamu n’okwambala Mask kuba ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lumiima mawuggwe owa COVID-19 azeemu okuwanika amatanga. Ono agamba nti abantu abakoze abali mu myaka 50 n’okudda waggulu wamu nabo abalina endwadde ezolukonvuba basaana bagende bafune booster dose kuba yamugaso nnyo gyebali.
Akubirizza abantu okugenda bagemebwe, obutava ku kwambala mask, okwewala ebifo ebirimu abantu abangi ng’ebivvulu kuba eno obulwadde gyebusinga okusaasanira.
Agamba nti wadde #omicron variant ekyasaasana kitono nti naye yandyeyongera nefuuka eyattabu ekiyinza okuviirako abantu okufa abangi.