Omukulembeze w’akakiiko akekiseera Awad Ibn Auf eyakulembeddemu amaggye okusindikiriza Omukulembeze wa Sudan abadde afugidde emyaka 30 Omar al-Bashir yalekulidde ekiro kyegulo oluvannyuma lwa Bannansi okumuwakanya nga bagamba nti ono abadde ku lusegere nnyo ne Bashir.
Awad Ibn Auf yalangiridde ku TV y’eggwanga nga bwebalonze Lt Gen Abdel Fattah Abdelrahman Burhan atambuze ekintu.
Amaggye gagamba gagenda kufugira emyaka 2 n’olubannyuma gategeke okulonda.