Munisipaali y'e Mubende etongozza ekikwekweto ky'okuyoola abaana abataayaayiza ku nguudo z'ekibuga Mubende.
Mmeeya wa Munisipiaali eno, Ssekiziyivu Innocent ategeezezza nti kino bakikoze olw'baana abasusse obungi mu kibuga abatembeeya ebintu omuli; Ennyaanya, Entula, Obutungulu wamu n'obutunda mu ngeri emenya amateeka.
Ssekiziyivu annyonnyodde nti abaana abasinze obungi babinikibwa n'e bintu ebitagya mu myaka gyabwe okubitembeya ekintu ekityoboola eddembe ly'abaana bano.
Ssekiziyivu agasseeko nti embeera eno eviiriddeko n'abaana bangi okutomerwa ebidduka nebalemala oba okufiirwa obulamu bwabwe bbo ng'abakulembeze kye batasobola kugumiikiriza.