Kkooti Ejjulirwamu olwaleero eggyeeyo Omubaka wa Bukimbiri County Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Eddie Kwizera Wa-Gahungu. Ono yatwalibwayo Munnakibiina kaga Forum for Democratic Change-FDC James Owebeyi nga agamba nti Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde kalemererwa okutegeka akalulu nga amateeka bwegalambika.
Abalamuzi bagamba nti EC yalemererwa okukola ku nsobi eyali ku bukonge obwakozesebwa mu Bukimbiri Constituency nga ebifaananyi ebyateekebwa ku mannya byali byabesimbyewo mu kitundu ekirala.
Owebeeyi yekubira enduulu mu EC naye teyayambibwa bweyagenda mu Kkooti Enkulu e Kisoro, Omulamuzi Phillip Odoki nagoba omusango ggwe ekimuwaliriza okwekubira enduulu mu Kkooti Ejjulirwamu.
Kkooti eragidde Akakiiko k’ebyokulonda akatengeredde aka Independet Electoral Commission Uganda okutegeka okuddamu okulonda era kaliyirire ne Owebeeyi ensimbi zonna zakozesezza mu musango guno.