Ssentebe wa Kkooti y’Eggye lya UPDF Brig. Freeman Mugabe alagidde Munnamateeka wa Rtd Col. Dr. Kizza Besigye wamu ne Hajji Obeid Lutale, Eron Kiiza akwatibwe era neyegatta ku bavunaanibwa mu kaguli.
Kkooti y’Amaggye e Makindye esindise Munnamateeka Eron Kiiza mu kkomera e Kitalya amaleyo emyezi 9 lwakukola bikolwa byebagamba nti binyomoola Kkooti.
Kigambibwa nti Kiiza olwaleero bwayingidde Kkooti atandikiddewo okulekaana nga bwakuba ebintu, nebamulabula wabula natawuliriza.
Bya Christina Nabatanzi