Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP HOn. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nasiima Munnamateeka era Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende; “Weebale nnyo Munaffe Shamim Malende olwokubeererawo banaffe ababa bakwatiddwa buli kadde. Olumu ebibala biyinza obutalabikirawo, wabula buli lwoba olwanirira ekituufu, obeera wetaaga Munnamateeka okubeererawo okutaasa. Tusiima byonna byokola. Weebale nnyo.”