Munnamawulire Andrew Arinaitwe, kyaddaaki ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka kakadde kamu ak’obuliwo wamu n’obukadde 5 ezitali zaabuliwo eri abamweyimiridde bwatyo nayimbulwa okuva mu kkomera e Nkozi gyeyali asindikiddwa ku alimanda.
Kino kiddiridde ono okukwatibwa nga asaalimbira ku ssomero lya Kings College Buddo n’okugezaako okubbayo ebintu wadde ye agamba nti yaliko eggulire lyagoberera.