Munnansi wa China afiiridde mu kabenje – Iganga

Munnansi wa China afiiriddewo mbulaga n’abalala basatu nebaddusibwa mu ddwaliro lya Kampala International Hospital wamu n’ erya Iganga nga taasulewo taasiibewo y’ali ku mimwa, oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje  ku luguudo oluva e Iganga okudda e Tirinyi .

Omusasi waffe Willy Basoga Kadama atutegeezezza nti enjega eno egudde ku kyalo Namalemba  nga emmotoka kika kya Landcruiser nnamba UAX 510J eyabise omupiira okukkakkana nga omu z’embuyaga ezikaza engoye . Kigambibwa nti Abachina bano babadde bagenda kulambula byuma byabwe  ebigaba ssente ssinakindi buyite ebizannyirwako zzaala .

Wabula Police etwala ekitundu kino erabudde abatuuze abanyagulula abantu ababa bagudde ku kabenje kubanga oluusi kiremesa n’okumanya ebiba bibakwatako

 

Leave a Reply