Minisita w’Ebyobulamu Dr. Ruth Aceng avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lw’Eggwanga lya Amerika okusala ku buyambi bweriwa Ensi ezenjawulo, kyaviirako Uganda okufiirwa ensimbi obuwumbi 604 zebadde efuna mu buyambi okulwanyisa ebirwadde okuli; akawuka ka mukenenya, omusujja gw’ensiri, akafuba, ebyendiisa wamu n’okusasula emisaala. Bino abyogeredde mu Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobulamu bwabadde akasaba kakirize okusaba kwa Minisitule ye okwa 2025/26. Ono era asabye Palamenti okunoonya ensimbi ezigenda okweyambisibwa mu byobulamu, Uganda esobole okweyimirizaawo okusinga okweyinulira ku buyambi.
#ffemmwemmweffe
Munoonye awava ssente z’ebyobulamu – Minisita Aceng
