MUNOONYEREZE EKYAVIIRAKO OMUSIBE OKUFIIRA MUKADUUKULU, FFAAZA MU MULEKE – DPP

Omuwaabi wa Gavumenti e Masaka Birivumbuka Richard agobye fayiro y’omusango gw’obutemu ogubadde gwagulwa ku Fr. Mugisha Richard ne munne Joseph Mutayomba nga ono ye Secretary Defence nalagira Uganda Police Force enoonyereze ekyaviirako omusibe okufiira mukaduukulu kaabwe.
Kino kidiridde agambibwa okubeera omutemu Kyeyune Ronard kati omugenzi okuwalampa ekisaakate kya Ffaaza ekisangibwa e Bisanje mu Gombolola y’e kimanya Kabonera mu Kibuga Masaka nasangibwa nga atudde mu motoka ya Fr. Mugisha Richard kyokka ngono yali bukunya.
Ffaaza nga ayambibwako abali bakuuma ekiro bamukwata era nebakubira Poliisi eyamunona nemutwala ku kitebe kya Poliisi e Masaka kyokka omusajja oyo nafiira mukaduukulu kaayo.
Oluvannyuma lwomusibe okufa Ffaaza yayitibwa ku kitebe kya Poliisi e Masaka naggulwako omusango gw’obutemu.
Leave a Reply