Waliwo musajja mukulu atemera mu gy'obukulu 67 e Kasana Luweero eyeggye mu bulamu bwensi eno olwaleero .
Entabwe eviiriddeko ono okwetta tannategeerekeka naye nga amannya ye Guster Muwonge.
Omusasi waffe atutegeezezza nti Ssentebe w'ekyalo ono alabye ku Muwonge ono bw'abadde asaba akambe okusala olulagala wabula ate oluvannyuma bagenze okulaba nga yeesaze obulago era bagenze okumuduukirira nga basiwa nsaano ku mazzi era bw'atyo n'akkirira ezzirakumwa. Wabula kigambibwa nti okuva lweyalongoosebwa omutwe yatabukamu. Kitalo!