Pulezidenti Museveni alabudde abalamuzi okubeera abeegendereza ennyo mu ntaputa y’amateeka bwebaba basala emisango, kubanga singa bawa ennamula enkyamu kiyinza okuleetawo obuvuyo mu bannansi .
Okwogera bino Pulezidenti Museveni abadde aggalawo olukungaana lw’abalamuzi abali mu mawanga agakola obuvanjuba bwa Africa olubadde luyindira ku Speke Resort e Munyonyo ku Speke Resort ekisangibwa ku nkingiizi z’ekibuga Kampala.
Omukulembeze w’eggwanga agamba nti amawanga agano agali mu buvajuba galina emikisa mingi nnyo ddala egy’okukulaakulana wabula giyinza okukommekkereza nga gifudde ttogge singa wabaawo obunafu ku bimu ku bikono ebikola Gavumenti .
Akukkulumidde abalamuzi wano mu ggwanga olw’okugutwala ng’omugano mu kuta abantu abavunaanibwa emisango gya naggomola ku kakalu ka kkooti .