Omukulemebze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwa leero alonze abawandiisi abakulu mu bitongole eby’enjawulo mu buyinza obumuweebwa mu kawaayiro aka 174m,u ssemateeka w’eggwanga .
Omuwandiisi omukulu mu maka g’obwa Pulezidenti ye Rucy Nakyobe Mbonye ,
Omuwandiisi omukulu mu yafeesi y’omukulemebezde w’eggwanga ye Deborah Katuramu,
Amyuka akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mirimu gya Gavumenti ye Vincent Opiyo Lukone
Ate akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti era nga ye muwandiisi w’olukiiko lwa ba Minisita, ye John Mitala .
Omuwandiisi omukulu mu Yafeesi ya Ssaabaminisita ye Christine Gwatudde Kintu ,
Omuwandiisi omukulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti ye Catherine Musingwire.
Omuwandiisi omukulu ku kitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka , amayumba n’ebyenkulaakulana ye Dorcus Okalanyi,
Omuwandiisi omukulu mu kitongole ky’ebyentambula n’ebyemirimu ye Bageya Waiswa ,
Omuwandiisi omukulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mazzi n’obutonde bw’ensi ye Alfred Okoth Okidi .
Omuwandiisi omukulu mu kitongole ekivunaayizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga ye Ambassodor Patrick Mugoya.
Omuwandiisi omukulu mu kitongole ekikwasisa empisa ye Alex Okello ate omuwandiisi omukulu mu yafeesi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti ye Rose N. Kafeero , Major Edith Nakalema kati ye muyambi w’omukulembeze w’eggwanga n’abawandiisi abalala bangi abalondeddwa mu bitongole eby’enjawulo .