Pulezidenti Museveni awanjagidde bannaddiini okumukwasizaako mu kulwanyisa obukenuzi obukudde ejjembe mu ggwanga nga tebukkiriza na nkulaakulana kuyitawo.
Obubaka buno Pulezidenti yabutisse Nampala w’ababaka mu Palamenti abali ku ludda lwa Gavumenti, Ruth Nankabirwa mu kuggulawo Klezia ya Our Lady of Fatima e Mubende era nga eno yawemmense obuwumbi bw’ensimbi za Yuganda busatu (3bn).
Ye Ssaabasumba w’essaza ly’e Kiyinda Mityana, Bishop Anthony Zziwa yasiimye abaawaddeyo ku mulimu gw’okuzimba Eklezia era n’abasaba obutajjanga okwo.