Museveni ayagala kukyuusa mu Ssemateeka – Hon. Ssemujju

Omubaka akiikirira Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda; “Ekigendererwa kyabwe kuzzaawo Kkooti y’Amaggye etali mu mateeka. Baagala kukyuusa Ssemateeka ne UPDF Act. Baagala kuggyawo kawayiro ka ssemateeka ak’omuntu okuvunaanibwa n’obwenkanya wamu n’ebisaanyizo byabo abalina okukubiriza Kkooti zino. Ssemateeka takiriza Palamenti kukyuusa nsala ya Kkooti kyova olaba nti baagala kukozesa lukujjukujju. Omanyi Kkooti z’amaggye ziyamba Museveni okuyisaawo ekya kakalu ka Kkooti.”
Leave a Reply