Sentebe w’ekibiina kya NRM ate nga ye Pulezidenti, Yoweri Kaguta Museveni ayimirizza kampeyini z’okuwenja akalulu k’obukubiriza bwa Palamenti n’obumyuka.
Kino akikoledde Kyankwanzi ku tendekero ly’e byobufuzi mu Lusirika lwa bannakibiina kya NRM olwetabiddwamu ababaka 301 abakadde n’abaggya.
Kino kiddiridde okuba nga ababaka abawera abana omuli Sipiika aliko Rebecca Kadaga, Jacob Oulanya, Sam Kuteesa ne Theodore Ssekikubo okutandika kakuyege nga Oulanya yakubye obutabo n’ekkalaamu ebiriko amanyage era abadde abigabira ababaka.